Hosea 2:5-13

5 aNnyabwe yakola obwenzi,
n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
n’amafuta n’ekyokunywa.”
6 bKyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
7 cAligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
okusinga bwe ndi kaakano.”
8 dTajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
9 e“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
bye yayambalanga.
10 fEra kyenaava nyanika obukaba bwe
mu maaso ga baganzi be,
so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11 gNdikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 hNdizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13 iNdimubonereza olw’ennaku
ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
n’agenda eri baganzi be,
naye nze n’aneerabira,”
bw’ayogera Mukama.
Copyright information for LugEEEE